EMBOOZI EZITANYUMIZIKA - EKITUNDU (Episode) 9
OMUWALA EYATULIKA NGA BBOMU MU SSANTIRI (Akatundu II)
Twaleka nnyimirizza Doreen, eyali ava ku mulimu akawungeezi nga ntandise okumutokota era nga mmusabye akkirize mmuwerekereko. Bino bye byaddirira....
Doreen yanziramu nti, “Kyokka bannange, Hmmnh, olina ebigambo bingi bulala! Olwo omperekera wa eyo gy’omanyi?” Ko nze nti, “Ewuwo.” Omuwala kwe kumbuuza nti, “Simanyi oli ‘student’ wa wano? Naye nga sikumanyi era sikulabangako? Abaana ba wano bonna mbamanyi.” Ko nze nti, “Era kyenkana ndi ‘student’ naye nze ndowooza ssinga wakkirizza ne nkusitulirako ebintu, twandibadde na kati tutuuse.” Omukazi kwe kukola kye nnali simusuubira, n’ankwasa ekiveera ekya kiragala omwali ebintu bye saategeera. Oba yali asibye mmere!? Hahaha!
Twatambula bw’ambuuza nti, “Kati erinnya lyange walitegeerera wa ggwe atali w’eno? Ate tonnimba, kuba nze sikulabangako. Mpulidde ompita erinnya ate nga nze sikumanyi.” Ko nze nti, “Erinnya ly’omukyala asinga obulungi ku kitundu teriyinza butamanyibwa.” Doreen yaseka n’agamba nti, “Hahaaa, naye bannange! Wanzijiridde leero musajja ggwe nno! Ye kati bwe bansanga nga njogera naawe era nga tutambula, ne bakumbuuza erinnya olwo mbagamba ki?” Ko nze nti, “Mpita Mesach.” Edda nalina omuze gw’okuwa abantu abatammanyi erinnya eryo, ate awamu nga nkozesa lya Mulindwa ne tugendera awo.
Doreen yasulanga munda mu yunivaasite era bwe yali atuuse ewuwe mu mmita nga kikumi (100) okuva ne we twali tuvudde, n’antegeeza nti, “Ssebo…., eh, mpozzi waŋŋambye ggwe Mesach? Nze ntuuse ewange. Mpa ebintu byange, nkusiibule.” Namugamba nti, “Nga sinnagenda, nsaba okkirize nkukube akaama.” Doreen yaddamu nga bwe yeekunkumula nti, “Bandaba nno! Ssebo ggwe, gwe simanyi onkube akaama, e eh kyokka bannange!”
Nayanukula n’obuwombeefu bwe nnali sikozesangako nti, “Naye Doreen naaweeeee, kati akaama obwama kaliko ki? Kkiriza nkukube akaama. Oba nfukamire, nnyabo?” Doreen yantegeeza nti mbimugambire awo, ekirungi tewali awulira mulala naye nti tajja kukkiriza kumwogerera mu kutu. Namusaba essimu ye n’anziramu nti eri wala mu nsawo ye, ne mmuddamu nti, “Sitegeeza ssimu yo yennyini, wabula ennamba yo.” Awo kwe kunsekerera, “Hehehehehe, otegeeza nnamba? Kati ogyagaza ki ggwe, gwe simanyi? Oyagala kunguza bakisalamutwe?”
Ekiwala kyandoobya nnyo ekiro ekyo mu keezi akaali kaaka nga kuggulu tekuli wadde akale akasirikitu, naye oluvannyuma munda yange ne nneesunako nti olaba kimpa obudde obwo bwonna, kitegeeza nja kukimegulako ettofaali munne w’ettafaali. Nasikayo essimu yange ne nfukamira nga bwe kindagira okusitukawo mangu naye nze nga sibiwulira. Nafukamira ne nkisaba kiwandiike nnamba yaakyo ku ssimu yange, era bwe kyakkiriza, ne nneebaza byansusso. Awo kwe kukigamba nti, “Kati nga sinnagenda, nsaba okkirize nkukube akaama kange akasembayo awo nkuleke.”
Doreen yanziramu nti, “Vva wano, bajja kukukubira bwereere ate nkuleetere ebizibu by’otoosobole.” Ko nze nti, “Ku ggwe ne bwe bankuba biba binnyumira kuba baba bankubira nnalulungi w’oku kitundu n’eggwanga lyonna.”
Ye bannange, nga sinneeyongerayo, ka nkikinale mbuuze nti, mulitegeka ddi empaka z’obwannalulungi ne sserulungi w’oku mukutu guno? Tulina wano envubuka ennangavvu ne baanabawala abalungi lwondo. Mujje muzitegeke nga nze kamwakoogera naawe ffe basazi baazo. Hahahaha! Ka nzireyo ku mboozi, temugambira awo nti leero sirina bye nnazze kunyumya.
Omuwala yateekawo okutu naye mba nsembera okumukuba akaama ate n’akuggyawo nga bw’agamba nti, “Ye ng’opapa bulala? Nze lindako! Oyagala kunkuba kigwo?” Namuddamu nti, “Nedda sweet, sisobola kukugwira. Teekawo okutu nkubuulire.” Yateekawo okutu ne mmukuba akaama nti, “Doreen, nkwagala. Nzikiriza enkya nkulabeko mpe obujulizi eri ensi n’eggulu nti…” Teyaŋŋanya kubimalayo n’aggyawo okutu n’anziramu nti, “Kale ssebo, mbitegedde. Kati genda. Sula bulungi Miisaaki.”
Namwagaliza ekiro ekirungi naye nga ŋŋenze simazeeyo kye njagala kumugamba ate nga simanyi oba enkya anakkiriza okundaba. Enkeera nakeera kukubira Doreen era essimu yagikwata n’aŋŋamba mmukubireko edda, nange kye nakola. Wabula kw’olwo teyalabikako wadde nga twateesa aw’okusisinkana akawungeezi ng’annyuse. Natuula mu kirabo ky’emmere ekya Maama Isma ne nkonkomalira omwo, okutuusa lwe nnennyula ne nvaawo!
Nga wayise ebbanga, namukubira essimu n’antegeeza nti yabyerabidde. Nalina okudda mu kibuga nkole era enkeera ku Ssande, Doreen namulumba bweru wa ‘ddayiningi’ n’antegeeza nti tantegeera bulungi naye mmuwe obudde yeerowooze. Naddayo e Kampala nga omutima guntundugga kuba ‘ekintu’ nnali nkirekedde agasajja agatali gangu ku kyalo!
Buli lunaku nakubiranga Doreen essimu era olunaku lwe twalagaana ajje mu kibuga mmutwaleko ‘awutu’ ku bbiici, nalwetegekera ng’agenda okumala omujiji oboolyawo n’okusingako anaabaaga. Nagamba nti abawala bano oluusi balimba era kye nakola kwe kugenda butereevu mu kyalo mmukimeko. Namubuuza oba taakole kw’olwo n’antegeeza nti buli wiiki bawummulamu ennaku bbiri ate ne wabaawo omulala amutuulirawo.
Namubuuza by’akola n’antegeeza nti omulimu gwe gwa kubala mmere abayizi gye balya n’okukola ku by’okugigula wadde ng’olumu ayambako mu kutegeka ddayiningi n’oluusi okwenyigira mu kufumba. Twagenda ku bbiici ya Sese Gateway kuba gye nnali ntegeera obulungi anti natwalangayo nnyo agaduuda. Doreen yeepiika ebbidde nange ne ntya nga simanyi bwe tugenda kudda mu kyalo.
Ku olwo nakuuma obuntubulamu era nalina ekimotoka ki Premio ekikaddekadde. Omwo mwe namuteeka ne nkivulumula akawungeezi ako okuzza Doreen mu kyalo naye nga ebbidde limusibye enkalu. Ekimotoka nnali sikivugangako kukitwala lugendo lwa mu kyalo naye nayambibwa ne tutuuka bulungi kyokka nga sisobola kusitula Doreen eyali atamidde era nga yeebakidde muli munda nninga atwala omugugu!
Nnali simanyi bwe mpita ku ggeeti ya yunivaasite n’eggwala kyokka bwe nasangawo munywanyi wange Ssentumbwe, bwe twazirunda, twayogeramu bitono n’anzikiriza okuyingira nga mmulimbye nti nzizaayo omu ku bakozi b’omwo mulamu wange awummuddemu mu mutto gw’emabega tuva ku mbaga mu kibuga. Teyatawaana na kukebera, ng’andeka nga mpitawo nga nserengesa lintu lyange.
Nagezaako okuzuukusa Doreen kyokka nga yenna tategeera biri ku nsi. Oluvannyuma yazibulamu katono ne mmubuuza awali ebisumuluzo kyokka ng’avuya buvuya. Nakwata ensawo ye ne nkebera ebisumuluzo, olwo ne nneebagajja lintu lyange ne ndiyingiza mu kasirise. Ekyannyamba tewali yatulaba, mpozzi nga baali mu madirisa na bumooli nga mwe balingiririza.
Najja nneesunze okutiiya Doreen ekitiiyo naye akinnyonnyoke oba kale nze waakiri nkinnyonnyoke naye bwe mmutuusa bwe nti mu ntebe, ne ntandika okumuweeweeta ate awo n’awaliramu katono. Ku budde obwo yali asiiya busiiya nga ansaba kimu ndeke kumukolako mikolo, nnindeko. “Miisaaki, naawe! Sooka olindemuuko. Kale lindako nnina kye nkugamba. Ayiiii, sooka oleke naaweeee!” Namugamba nti, “Kale nkulese nno mbuulira ky’oŋŋamba.”
Awo Doreen, eyabuulukuka ng’amenvu ga ndiizi yenna ng’abulako kuliibwa, kwe kwogera nti, “Hmmnh, kyokka ggwe mwana ggwe…” Awo ne ntwala olugalo okuluyisa mu bisambi nga bwe yeekuniza ate nga bw’asiita ebigere n’okuntangira nti, “Nedda, sooka olindeko! Mpulira ebintu ebyo mbitya! Leka nno tuteese naaweee….” Olwo nno ng’omukono gwange ogubadde gwolekera obwengula, agunywerezza awo mu gasambi agaboobevu agabuguma tayagala gweyongereyo. Ku budde obwo nnali ntetenkanya we nnyinza kugula bupiira si kulwa nkalakata ekintu ekinanzaalira ebitukula.
Wabula mu kulwana ennyo nga Doreen anneegayirira tuteese, engalo zange zeesogga awali omukwesese gw’emmese ya Doreen. Nagenda okuwulira nga mpulirayo ekikaluba. Okukwatako obulungi nga omukulu ali mu ndoobe (pad) abagenyi bakamyufu baamukyalidde era nga simanyi lwe balikyaluka. Natya nnyo era n’ekyagala kyanzigwako. Nafuluma ne ngulira Doreen amata ku kantiini ssaako amenvu ne kkeeki bye yantuma.
Namusiibula ne nzikirira ewa Maama nneebake. Omukadde namugwako bugwi era yeewuunya nnyo obutamutegeezaako nti nzija, ne mmulimba nti nsiibye mu nnimiro yange ku kyalo Mawu era obudde gye bunzibiddeko nga njigga basajja abanaasaawa ensiko mu kitundu ekyali kiduumye omuddo.
Doreen ndowooza bwakya alowooza nze era essimu ye ye yampawamula mu kirooto kye nnali ndoota nga ndya ennyama y’akamyu. Yanneebaza okumutwalako ‘awutu’ era n’anneetondera olw’okunkomya ku njokye nti naye bambi si bwe yali ayagadde, kyokka n’ansuubiza okunzikakkanya ku lwakiriro mu bwangu ddala.
Naddayo ewuwe ne mmulabako ne nnywaayo ka caayi oluvannyuma ne mmukwanga emitwalo ena, n’afukamira okwebaza! Nagamba nti oba mpase ono anzaalire ebyana ebirungi, anti nga ndaba n’empisa zimuyisa kuli! Omukazi afukamirafukamira atyo nzijukira yali Nakimuli, gwe nnali nfunidde ku mupiira e Namboole. Bannange Nakimuli, ow’omu katale k’e Kireka, yali afukamira, ho! Nga buli kimu afukamira, kyokka nga tetuli na bafumbo! Oyo nno naye yawooma n’asukka. Oba yalaga wa? Mmaze emyaka 10 simuwuliza.
Nadda mu kkekete lyange ne ndikalakata okudda ku kibuga nga tulagaanye ku wiikendi eddako tusisinkane. Wabula Doreen yankubira essimu nga nnaakatuuka n’antegeeza nti yeetegerezza nga ajja kuba ‘off’ (ajja kutwala ennaku ze ez’okuwummulamu) ku Lwokutaano n’Olwomukaaga oluddako era namulaalika nti mmweetegekedde ng’ensanafu bwe zeetegekera omutamiivu ekiro.
Ku olwo nannyuka mangu ne nzira awaka era nga obumere bwange bwonna obwali butera okunkyalira ku wiikendi mbuyimirizza n’okububikira nga bwe nfiiriddwa mu kyalo nti ŋŋenze kuziika. Eggwala lino Erinyarwanda nalikima ku siteegi awo e Wankulukuku ne tugenda awaka ku makya.
Nagenda ndiwaana nti, “Ffiga yonna na buli kirungi ekiri ku bamalayika baabibaggyako ne babiwa ggwe!” Nga nno lyo bwe lyesesa nti, “Hmmnh, Kyokka ggwe nno! Hmmnh! Nze ndeka onoonya okundyako ebyange by’otonnasasulira ewaffe!” Ko nze nti, “Yiiyii, ogenze okuntunuulira nga ndabika okukulyako ebibyo? Ggwe naawe togenda kundya?”
Awo kwe kunziramu nti, “Yiii, ggwe oyagala okundya kyokka mpulira nkutidde. Laba bw’ondeese ne gye simanyi! Oba kiki ekindiko? N’engeri gye nzize wano sigitegedde! Simanyi Misaaki oli mulogo nga wandoga?”Ko nze nti, “Nange simanyi. Naye weebale kujja kundabako na kusalawo osuleko ewange.” Doreen awo yanziramu nti, “Bakazi bo tebansanga ne bankubira wano?”
Awo kwe kumukakasa, kyokka nga mmudyekadyeka n’okumusiikasiika ssaako okumukuba adiisi nti sirina bawala, nti abakazi baali bantama era nti bulijjo nnoonya mukazi omutuufu, bwentyo akageri ke nfunye ye, nti awo omutima gunzise era gundi wamu ka twagalane batubaggyemu embaawo. “Akageri ke nkufunye, ggwe nkwesoose era nkubuukinze. Ekyo ne mu ggulu bakiwandiise!” olwo anti ntabbira eggwala Erinyarwanda nga bwe tuyingira mu nju nzenna nfa ejjakirizi.
Doreen yanziramu nti, “Kyokka bannange! Nze tonsesa. Ombuukinze, ogenze okulaba nga ndi ndibota?” Awo ne tuseka ne tuyingira ne nsooka nkweka mangu akagatto k’oluwala lu Fiona olw’e Rakai, ebiseera ebyo olwateranga okunkyalira. Lwali lwerabira omugogo gw’engatto zaalwo era emu eyali eringiza nagisindika wansi w’entebe nga Doreen tagirabye.
Nayagala ntandikirewo naye Doreen n’aŋŋamba nti, “Kkakkana. Wano sigenda kuvaawo. Opapa ki ng’ate okimanyi nti ndi wa kusula onkole buli kimu ky’oyagala? Kyokka bannange Misaaki?” Twasookera mu byakulya kyokka ne nzijukira nti sirinaawo ggirikooti. Nneefuula aliko kye nkimye ku dduuka era awali ‘pharmacy’ okumpi we bammanyi, nayitawo buyisi si kulwa bansunga! Awo nneeyongerayo eyo ku kkubo eriyita emabega w’ekisaawe ky’e Wankulukuku, gye nagula ggirikooti nga nzenna nneebisse akakoofiira ate nnyambadde gujjaketi saagala bandabe mu maaso.
Nagulayo bu kkaadi bwa matatu era twasooka kukuba matatu nga ndekera Doreen n’ampangula, nsobole okumusanyusa. Twanyumirwa nnyo naye nga nze nfa ejjakirizi nga nninda ssaawa yokka eri eyalagirwa.
Nagenda okukwata ku Munyarwanda wange nga yayidde dda! Okumusitula w’abadde atudde nga wonna wasaze ogupaapi ogunene ne ŋŋamba nti luno luno, ho!
Okumwebasa ku kitanda, yafuuwa aga ttaapu nga galinga olukka ne gagwa emirannamiro w’ekitanda, ne njula okugwamu ekisujja ky’ekitengo. Nagamba nti, ono anaasoboka ono, eh!! Bukya ndya myungu ku luno nno kirabika ŋŋenda kumeketa butanga!
Ebyaddirira bya nkya oba luli. Mubeere bulungi!
No comments:
Post a Comment